Show simple item record

dc.contributor.authorNanyuti, Christine
dc.contributor.authorNabasirye Mary Angella
dc.contributor.authorSsentongo Moses
dc.date.accessioned2022-05-12T11:41:49Z
dc.date.available2022-05-12T11:41:49Z
dc.date.issued2022-01-24
dc.identifier.citationNabasirye, M. A., Ssentongo, M., Nanyuti, C. (2022). Entegeera y'ekimiimo 'literacy mu boogezi b'ollimi .oluganda. Unpublished master's thesis. Makerere University; Kampala-Uganda..en_US
dc.identifier.urihttp://hdl.handle.net/20.500.12281/12422
dc.descriptionA dissertation submitted to the school of Education in partial fulfillment of the requiremnet for the award of degree of bachelor of Arts with Education of Makerere University.en_US
dc.description.abstractOkunoonyereza okuno kwali ku ntegeera y’ekimiimo “Literacy” mu Boogezi B’olulimi Oluganda mu kitundu ky’eNansana. Twakizuula nti mu kitundu ky’e Nansana mwalimu abayivu abawerako era nga oluusi be twabuuza beeyongerangako nga abayivu nga ddala beejuulizaako bo bennyini. Twakizuula nti n’abatali bayivu baalimu mu kitundu ky’e Nansana era nga ne kino twakiggya mu kuddamu kw’abazibuzi be twafuna. Buli gwe twabuuza teyabuusabuusa nti ddala abo abatali bayivu mu kitundu baalimu. Abandi baagenda mu maaso n’okubajulizaako nga baddamu ebibuuzo ebirala newankubadde tebaabaatuukiriza mannya. Twakizuula okuva mu bazibuzi nti omuyivu ye muntu asomyeko okutuuka mu kibiina eky’omusanvu oba ssiniya ey’omukaaga. Baayongera ne batutegeeza nti omuyivu ye muntu alina obusobozi okubaako ekintu ky’akola nga akimanyi era omuyivu abeera mumanyi. Abandi baayongerako nti alina okubeera nga yakugukira mu bbanguliro lyonna essomero oba okuyigira ku mulimu (apprenticeship) era nga alina n’ebiwandiiko ebikakasa nti ayize. Omuyivu ayawula ekituufu ku kikyamu, yeebuza ku bamusingako era n’ayambako ku balala okubasitula okubaggya wansi era yeegendereza mu by’akola. Okusinziira ku bazibuzi baffe omuyivu akolera ebintu bye mu budde obutuufu, akolagana n’abantu bonna nga tafuddeeyo ku nsibuko yaabwe. Omuyivu yeeyisa bulungi era akolanga eky’okulabirako eri abalala. Omuyivu ayambala mu ngeri emuweesa ekitiibwa, tamala googera, akkiriza okuwabulwa, anoonyereza nga tannakola kusalawo, n’ebirala bingi. Abazibuzi baalina endowooza ez’enjawulo ku biyinza okusinziirwako okuyita omuntu atali muyivu. Baatugamba nti abantu abatali bayivu tebabeera na buvunaayizibwa, bamala googera ebigambo n’ebyo ebiwemula, beemulugunya mulugunya, baleekaana, bambala bubi, n’ebirala.en_US
dc.language.isootheren_US
dc.publisherMakerere Universityen_US
dc.subjectResearch Subject Categories::SOCIAL SCIENCES::Social sciences::Educationen_US
dc.titleEntegeera y'ekimiimo 'literacy mu boogezi b'ollimi .oluganda.en_US
dc.typeThesisen_US


Files in this item

Thumbnail

This item appears in the following Collection(s)

Show simple item record