dc.description.abstract | Mu mulimu gunno twolese abawandiisi ab'enjawulo abannyonyola ku nzirugaze n'engeri gyezikozesebwamu.
Mulimu ebiwandiiko ebyenjawulo byetwesigamyeeko mukunoonyereza kuno nga mu ebyo mwemuli engero empanvu nga zinnunula omunakku, Bwali Butamannya emizannyo nga gwosussa emwanyi ,Lozio bba ssesiriya.
Mukunoonyeereza kuno tuzudde oba nga nnakongezalinnya zonna zigattibwako enzirugaze mu luganda.
Mulimu omulimu gwenzirugaze bweziba zigattibwa ku nnakongezalinnya.
Mulimu ebiwandiiko ebyenjawulo ebikwatta kunzirugaze, empandiika entongole ey'olulimi oluganda wammu nokwekeneenya ebiwandiiko ebikwata ku kinoonyerezebwako.
Mu mulimu gunno tuzudde omulimu gwenzirugaze bweziba nga zigattiddwa ku nnakongezalinnya.
Mu mulimu gunno mweyolekeramu n'ebyo ebyetaaga okwongera okunoonyerezebwako. | en_US |