Emisomo gy,abasomesa b'olulimi oluganda n'obuvunanyizibwa bwabwe mu Kusomesa oluganda.
View/ Open
Date
2022-04-27Author
Kavuma, Gonzaga
Sserwadda, Habib
Katisi, Juliet.
Metadata
Show full item recordAbstract
Emisomo zibeera nkungaana ezitegekebwa abakugu okuva mu bisaawe eby'enjawulo mwe basisinkanira okuteeseganya ku bintu eby'enjawulo. Emisomo gisobola okwawulwamu ebika okusinziira ku ani ategese, omulamwa okutegekerwa emisomo, ebbanga lye gimala nga giyinda, mpozi n'obungi oba omuwendo gw'abantu abagijjumbira nga bwe birambuluddwa wamanga.
Okugeza waliwo "seminar" nga guno guba musomo omukugu oba abakugu mu kisaawe ekimu mwe booleseza n'okuwa obukugu abo abalala mu kisaawe kyekimu. Kyokka ate waliwo ne "conference" nga luno luba lukungaana olunene nga lutegekebwa n'ekigendererwa ekikulu eky'okwebuuza n'okuwanyisiganya ebirowoozo wakati w'abakugu n'abatali nga guno gutwala ebbanga eriri wakati wa w'olunaku n'enaku esatu sinakindi e wiiki. Ate nga "symposium" gwo guba musomo omusisinkanira abakugu n'abakugu okubaako omulamwa gwe bateeseganyako. So ng'ate ebika ebyo ebimenyeddwa waggulu era bisobola okwawulwamu ebika ebirala okusinziira ku ani oba kisaawe ki ekiwomye omutwe mu kutegeka omusomo okugezao giyinza okuba egy'eddiini (Religious conferences) nga gino gitegekebwa abakugu mu by'eddiini okukubaganya ebirowoozo ku miramwa egyenjawulo mu kisaawe eky'eddiini. Emisomo era gisobola okuba egy'abalimi (farmers conference/workshop), abakugu mu bulimi n'abalimisa mwebasisinkanira okusoma,okuyiga, n'okuwanyisiganya ebirowoozo ku miramwa egikwata ku by'obulimi. Okugeza ogwa " harvest money" ogutegekebwa vision group e Namboole buli mwaka. Emisomo nate era gisobola okuba egy'ekiyivu (academic conferences) abakugu mu bisaawe by'ekiyivu ebitali bimu mwe basisinkanira okukubaganya ebirowoozo, okusoma, n'okuyiga ebintu eby'enjawulo ku miramwa gy'ekiyivu egy'enjawulo ng'era mukowe lino ery'emisomo mu kisaawe ky'ekiyivu n'emisomo gy'abasomesa mwegigwa n'emisomo era nga tulina n'emisomo egy'ebika emirala mingi. Okusinziira ku National Curriculum Development Center Act 1973, nga lino ly'etteeka eryatondawo ekya (NCDC) ekirina obuvanaanyizibwa obukulu obw'okubaga n'okutegeka ebyeyambisibwa mu kusoma n'okusomesa. Kyokka ng'ogyeko okubaga ebyeyambisibwa mu kusoma n'okusomesa NCDC era essuubira okutegekanga emisomo nga emu ku ngeri ey'okukwasi abasomesa oba abo abateekesa ebibagiddwa okusomesebwa mu nkola, enkyukakyuka n'ebintu ebipya ebiba bibaluseewo. Era etteeka lye limu liwa ekitongole obuyinza okutegekanga emisomo singa waba wakuleetebwawo enkyukakyuka ezeekusa ku by'okusoma mu Uganda.
Olulimi Oluganda ng'amasomo amalala gonna agasengekebwa mu bbago ly'ebisomesebwa mu ggwanga ( syllabus), okugeza olungereza, essomo ly'ebyafaayo, ery'okubala n'amalala, bulijjo gategekebwamu emisomo eri abayizi baago era ng'egitegekerwa abayizi gigwa mu kiti ekya "seminars" so nga waliwo n'egitegekerwa abasomesa egigwa mu kiti ekya "conferences" ku miramwa n'ebigenderera ebitali bimu. Nabwekityo okunoonyereza kuno kugenda kwesigamizibwa ku misomo egy'ekiyivu " academic conferences" nga mu kiti ky'emisomo kino mwe tugenda okusinziira okunoonyereza ku Misomo gy'abasomesa b'olulumi.