Olulimi Oluganda mukakuubagano n'ennimi endala: [Luganda in conflict with other languages]
View/ Open
Date
2022-10-13Author
Nalumaga, Sharon
Namakula, Lindalee
Nakagiri, Immaculate
Metadata
Show full item recordAbstract
OMULAMWA:
Ethologue (2017) agamba nti Uganda erina ennimi ezisukka mu makumi ana (40) naye nga olulimi Oluganda lwe lusinga okubeera n’aboogezi abasinga obungi ku nnimi endala zonna mu kibuga Kampala. Olw’okuba nti olulimi Oluganda lwe lusinga okwogerebwa, weesanga nga aboogezi b’ennimi endala nga webasisinkana n’aboogezi b’olulimi Oluganda wabeerawo obukuubagano obutali bumu oluvannyuma lw’aboogezi b’ennimi ezo okusisinkana okugeza nga olulimi Oluganda okufiirwa ebigambo ebimuoba ennyingo ezimu nga weesanga nga ebigambo ebimu biggyibwamu ennyingo ezimu okusobola okukola amakulu mu nnimi endala, entuuma y’ebintu ebimu nayo eyawukana wakati w’Oluganda n’ennimi endala olwo nno ne wabeerawo akakuubagano wakati w’Oluganda n’ennimi endala okugeza mu Luganda amazzi mu Luganda gayitibwa “amazzi” naye ate mu lulimi Olusoga amazzi gayitibwa “amaadi” olwo Oluganda ne luba nga lubuzizza ennyingo ezimu oboolyawo n’okusikizibwa ennyingo endala. Ekirala nti ebigambo ebimu bibuza amakulu singa bizzibwa mu lulimi olulala nga Olungereza okugeza “okumpisaamu amaaso” ekivvuunulwa nga “passing eyes through me” nga omuntu bwaba ayogedde bwatyo mu Lungereza kiba kizibu omuntu omulala okufuna amakulu geegamu n’ago agali mu mu ekyo eky’Oluganda.
Abstract in English:
[The purpose of this study was to investigate the conflicts that emerge when Luganda speakers communicate with other language speakers].