Nanyuti, C., Nabasirye, M.A., Ssentongo, M. (2023). ENTEGEERA Y'EKIMIIMO "LITERACY" MU BOOGEZI B'OLULIMI OLUGANDA MU KITUNDU KY'E NANSANA. (Unpublished Undergraduate Dissertation). Makerere University, Kampala, Uganda.
View/ Open
Date
2022-01Author
Nanyuti, Christine
Nabasirye, Mary Angella
Ssentongo, Moses
Metadata
Show full item recordAbstract
Mu kuwumbawumba, twakizuula nti ekimiimo “literacy” mu Luganda tekisaanidde kuyitibwa “buyivu”. Kino twakituukako olw’engeri abantu abasinga gye baalwangawo okukituukako newankuadde twabibuulizanga kumu obuyivu nga tukigattako eky’Olungereza “Literacy”. Kyatwewuunyisa okulaba nga era oluvannyuma mu kwanukula abazibuzi ebigambo babitabula n’ebirala naddala obugunjufu n’okumanya. Kino kyatuleetera okulowooza nti ekigambo “OBUYIVU” tekikiikirira bulungi kya Lungereza “LITERACY”. Mu kuteesa kwaffe ebigambo ebirala nga obugunjufu, okumanya n’ebirala bisaana biddemu biteekebwe ku katiba n’obuyivu olwo ekisinga okuggyayo amakulu g’eky’Olungerezza “Literacy” kirondebweko. Okusoomooza kwe twafuna be bazibu baffe okutwala ekigambo “Literacy” nga ekitegeeza obusobozi bw’omuntu okusoma n’okuwandiika. Kino twalaba nga tekimalaayo makulu agali mu kigambo ekyo. Endowooza eno ewagirwa Hodaway, (1979) nti omuntu okusobola okuwandiika n’okusoma n’ategeera ebyo ebibeera biwandiikiddwa kyokka tekimala wabula okukola ebyo ekitundu mw’awangaalira bye bakkiririzaamu nti bituufu kikulu nnyo ddala okusinga okuwanuuza n’omulembe oba n’obuwangwa obutali mu bantu b’awangaaliramu.