Okunoonyereza ku nkyukakyuka ezizze zibaawo mu bufumbo

Date
2023-08
Authors
Nakacwa, Margaret
Nakanwagi, Leira
Nabatanzi, Halima
Wamala, Ronald
Journal Title
Journal ISSN
Volume Title
Publisher
Makerere University.
Abstract
Okunoonyereza ku nkyukakyuka ezizze zibaawo mu bufumbo kwatwaliramu okwekenneenya obufumbo mu bissera eby’edda n’eby’ensangi zino oluvannyuma enkyukakyuka ziryoke zeerage kyere. Kino kyatuukibwako mu bigendererwa bisatu nga bwe bizze byanukulwa mu kunoonyereza kuno Ekigendererwa ekyasooka, okuzuula ebyalinga mu bufumbo obw’edda, kyatunuulira obufumbo obw’edda okuva ku bantu abafumbo abaweza emyaka nsanvu okutuuka ku kyenda. Bano baawa ebiwe awatali kyekubiira nga boogera ku bugagga bw’ennono zaabwe ezibaddewo okuva edda n’edda. Ebiwe ebyava mu bantu bano byakolanga obujulizi ku byakolebwanga mu bufumbo obw’edda mu kwekenneenya enkyukakyuka ezizze zibaawo mu bufumbo ekyali ekigendererwa lukulwe mu kunoonyereza kuno. Ekigendererwa eky’okubiri, okuzuula ebiri mu bufumbo bw’ensangi zino, kyatunuulira obufumbo ensangi okuva ku bafumbo abaweza emyaka kkumi na munaana okutuuka ku myaka ana. Bano baawa ebiwe mu kunoonyereza kuno ebyesigamizibwako ebyava mu bufumbo obw’edda okusobola okufuna enkyukakyuka bu bfumbo. Ekigendererwa eky’okusatu, okuzuula enkyukakyuka eziri mu bufumbo, kyageraageranya ebiwe okuva mu bufumbo obw’edda n’obw’ensangi zino okusobola okulaba enkyukakyuka. Kyazuulibwa nti obufumbo mu biseera bino bwakolebwanga mu ngeri za njawulo era ejawulo zino ne zirambibwa nga enkyukakyuka mu bufumbo. Olwo n’ekiruubirirwa ky’okunoonyereza lukulwe ne kituukibwako
Description
Okunoonyereza okutuukiriza ebisaanyizo bya diguli mu busomesa (Bachelor of Arts with Education) mu Ssematendekero Makerere.
Keywords
Nkyukakyuka ezizze zibaawo mu bufumbo
Citation
Nakacwa, M. et al. (2023) Okunoonyereza ku nkyukakyuka ezizze zibaawo mu bufumbo; unpublished dissertation, Makerere University