Okwekennenya enneeyisa y'abayizi mu byomukwano ku ssetendekero Makerere

Date
2023-12
Authors
Kityo, Andrew
Auma, Teddy
Nandawula, Mary Teddy
Nakajjubi, Shadiah Mariam
Journal Title
Journal ISSN
Volume Title
Publisher
Makerere University
Abstract
Amawanga mangi mu nsi yonna galina engeri gye gatwalamu ensonga y’omukwano ng’ensi nnyingi buli emu erina emyaka egy’essira omuntu we bamusuubirira okutandikirako okwenyigira mu nsonga z’omukwano okusinziira ku nnono, obulombolombo, amateeka n’empisa z’amaka ez’enjawulo. Mu nsi z’ebweru tewali myaka gy’assarira muntu walina kutandika kwetaba mu nsonga z’omukwano, naye okutwaliza awamu kisuubirwa nti waliwo emyaka egisuubirwa omuntu walina okutandika okwetaba mu nsonga z’omukwano okutandikira ku myaka kkumi na mukaaga okutuuka ku myaka kkumi na munaana egy’obukulu. Ate ne ku lukalu lwa ssemazinga Afirika nayo amawanga gaayo tegalina myaka gy’assarira nga bwe kiri mu Bulaaya. Naye bw’otunuulira Yuganda, emyaka omuntu gy’atandikirako omukwano giyinza okwawukana nnyo okusinziira ku muntu kinnoomu by’ayagala, obuwangwa bwe, n’empisa z’amaka. Mu Yuganda, empisa z’okuganza ziyinza okukwatibwako enkola z’ennono n’enzikiriza z’ekitundu. Wadde ng’abantu abamu bayinza okutandika okuganza nga bali mu myaka gyabwe egy’obutiini oba egy’amakumi abiri, abalala bayinza okusalawo okutandika okuganza oluvannyuma. Kikulu nnyo okulowooza ku bwetegefu bw’omuntu, okukkiriza, n’empisa z’obuwangwa ng’osemberera okuganza mu nsi yonna. Ng’okusinziira ku Stephen B.Levine (2005), agamba nti omukwano maanyi ga butonde agalimu okwewaayo, agalimu ebiruubirirwa eby'omukwano ate era omukwano si mpulira ya muntu omu nti empulira eno ebeera mu bantu babiri, teri nga nnaku, teri nga nnugu, teri nga kikulumiriza, teri nga embeera zonna ezitera okubeera mu mpulira ey'omuntu omu.
Description
Keywords
Student's behaviour, Love affairs
Citation
Kityo, A (2023). Okwekennenya enneeyisa y'abayizi mu byomukwano ku ssetendekero Makerere (Unpublished undergraduate dissertation). Makerere University, Kampala, Uganda