Omutindo gw'ensomesa y'Oluganda mu bibiina ebina ebisooka ku ddaala nnakabirye (O'Level)
Abstract
Okunoonyereza kuno kwali kukwata ku mutindo gw'ensomesa y'Olulimi Oluganda mu masomero ga Nakabirye mu ggombolola y'e Makindye.Okusobola okufuna ebigendererwa by'okunoonyereza kuno,ebigendererwa bino ebituukibwako byatuukibwako.
Okwekkenneenya obusobozi bw,abasomesa mu kusomesa olulimi Oluganda ku ddaala Nnakabirye. Okwekebejja obusobozi bw'abayizi mu kuyita Olulimi Oluganda mu maomero ga Nnakabirye. Ebiwandiiko byekebejjebwa okusinziira ku bigendererwa ebyo ebiragiddwa waggulu, kale ebiwandiiko byekkeneenyezebwa okusinziira ku bigenderwa ebyo waggulu.
Kannampenda omunoonyereza gweyakozesa yalimu obubaka obubalibwa (Quantitative) n'obubaka obusomebwa (qualitaitve ) era obwo omunoonyereza bweyeekebejja. Ebyazuulibwa byaddamu ebyo byonna ebyali bikwata ku busobozi bw'abasomesa wamu n'abayizi mu kuyita olulimi Oluganda.Okusinziira kw'ebyo,kyazuulibwa nti Olulimi Oluganda omutindo gwalwo gwawansi kubanga abasomesa n'abayizi tebayina busobozi bumala. Omunoonyereza yayungululula ebyazuulibwa era oluvannyuma n'awumbawumba era n'alaga ebirowoozo bye ebisobola okutumbula Oluganda kubanga embeera gyerulimu okusinziira ku byazuulibwa yawansi nnyo.