Endowooza abayizi ze balina ku nnimi enzaaliranwa ku mutendera ogwa waggulu
View/ Open
Date
2023-07Author
Kisakye, Lydia Joy
Nakku, Elizabeth
Nanziri, Sarah Prossy
Namombwe, Teddy
Metadata
Show full item recordAbstract
Okunoonyereza kuno kwalaga endowooza abayizi mu ssettendekero Makerere ze balina ku nnimi enzaaliranwa mu Yuganda ssaako endaba empya ku nkola y'okusomesa ennimi enzaaliranwa mu ssematendekero Makerere. Olulimi oluzaaliranwa kitegeeza olulimi omwana lw'asooka okuyiga. Mu maka agoogera olulimi olumu, lw'erulimi lw'abazadde . Mu Uganda, ennimi
ennansi/enzaaliranwa mulimu ennabantu ( Bantu Languages) ezoogerwa naddala mu masekkati, buvanjuba, ne mu bugwanjuba bwa Uganda okugeza Oluganda, Olusoga, Olutooro, Olunyankole, Olunyarwanda, Olukiga, Olumasaaba n’endala. Ekiti ekirala kye kya "Nilotics" mu mambuka ga Uganda n’ebitundu ebiriraanye okugeza Ateeso, Acholi, Kumam, Ny’arikarimajong, Alur, Dhapadhola n’endala.