Enkozesa y'olulimi oluganda ku mikutu emigattabantu
Date
2024-05Author
Sserwanga, George
Nakirunda, Jovia Jingo
Namugema, Shibah
Nakato, Sylvia
Nakiyimba, Ritah
Metadata
Show full item recordAbstract
Emikutu emigattabantu giyinza okunnyonyolwa nga emikutu gy‟empuliziganya n‟enkola ezisobozesa abantu okukola,okuweereza n‟okugabana obubaka okusobola okutumbuula empuliziganya. Okusiinziira ku Merriam Webster, emikutu emigattabantu z‟engeri ez‟empuliziganya kinnamasanyalaze abakozesa mwe bayita okutondawo ekibanja mwebagananira obubaka, amawulire,ebirowoozo n‟ebintu ebirala. Schultze, (2009) agamba nti emikutu emigattabantu gwe mugatte gw‟ebikozesebwa awamu n‟ebibanja ku mutimbagano ebiyamba abantu ssekinnoomu oba ekibinja okwanguya ensaasaanya y‟obubaka awamu n‟okwanguya eby‟empuliziganya. Emikutu emigattabantu ze nkola ezeesigamizidwa ku mutimbagano ezizimba emisingi gy‟endowooza ne tekinologiya egisobozesa okutondawo n‟okuwanyisiganya obubaka bwa abo abakozesa enkola ezo (Kaplan ne Haenlien, 2010). Harery, (2014) annyonnyola emikutu emigattabantu nga enkola eyeesigamiziddwa ku yintaneti ezizimbibwa ku misingi gy‟endowooza ne tekinologiya wa web 2.0 nga www, ekozesebwa ng‟omukutu ebirimu n‟enkola mwe bikyusibwa abakozesa mu ngeri ey‟okwetabamu n‟okukolaganya. Emikutu emigattabantu gyatandika nga 24, May, 1844 Samuel. F. B. Morse omusiizi w‟ebifaannanyi omuyiiya bweyaweereza obubaka okuva e Washington D.C nga abuweereza Baltimore. Okucaaka n‟okukulaakulana kw‟emikutu gy‟empuliziganya mu Uganda kwatumbulwa kujja kwa yitanenti eyamangu mu 2009 wamu ne kampuni ya orange Uganda mu mannya ga “3G connectivity”. Okusiinziira ku Micheal Nyitegeka (Daily Monitor. July-01-2015) omukugu mu by‟amawulire era ayagala ennyo emikutu gy‟empuliziganya agamba nti bannayuganda bakwata mangu emitendera gy‟empuliziganya. Kino kisinze kweyolekera ku kweyongera kw‟okukozesa amasimu ne kompyuta n‟okuyungibwa ku mutimbagano. Omutimbagano gukolebwa emikutu emigattabantu egy‟enjawulo okugeza; facebook, whatsapp, X, Instagram, tiktok, telegram, snapchart, threads n‟emirala mingi. Newankubadde nga omutimbagano gukolebwa ebyo byonna ebyogeddwako waggulu, okunoonyereza kwaffe kugenda kwesigama ku bibanja bino: X, Facebook.