Obukwatane n'obwawuko mu ggulama wa secondary ne University
View/ Open
Date
2020-12Author
Nabanoba, Jesca
Nabukenya, Maxi
Nantongo, Regina
Nabaganzi, Allen
Metadata
Show full item recordAbstract
Okunoonyereza kuno kwetegereza obwawuko obuli wakati wa ggulama wa University ne Secondary. Era twatunuulira ggulama asomesebwa ku mutendera gwa secondary ne University era twekaliriza obwawuko n'obukwatane Ku mitendera gy'ombiriri era mu kunoonyereza kwaffe twatunulira ebyafaayo by'olulimi Oluganda n'engeri gyelwatandika okusomesebwamu
Ku madaala g'eby’enjigiriza agenjawulo naye essira twalissa Ku ddaala erya secondary ne University. Twatunuulira ggulama w'olulimi Oluganda n'engeri gy'asomesebwamu Ku madaala gombi nga wano twatunnulira ebifaanagana my nsomesa ya ggulaama wamu n'ebyo ebyawukana Ku mitendera gy'ombiriri. Ebisomesebwa mu ggulaama w'olulimi oluganda by'ebimu ddala Ku maddala gombi wabula Ku ddala erya university ggulaama bamusomesa n'obutunutundu bwe bwonna ate Ku Secondary ggulama bamuyita kungulu. Twakola okunonyereza kuno n'ekigendererwa ekyokulaga ensomesa ya ggulama okusinziira Ku nkula n’entegera y'abaana ku mitendera egyenjawulo