Entuuma y'amannya ge nguudo mu Kampala Capital City

dc.contributor.author Namubiru, Catherine
dc.date.accessioned 2025-01-28T10:53:54Z
dc.date.available 2025-01-28T10:53:54Z
dc.date.issued 2024
dc.description EKiteeso ky'okunoonyereza nga ekimu ku byetaago by'okumaliriza Diguli ya B. (Education) mu Department of African Languages, Makerere University en_US
dc.description.abstract Ennyanjula y’ekinoonyerezebwako: Okunoonyereza kuno kwakolebwa nga kugenderera okuzuula ebintu eby ‘enjawulo ebitunuulirwa mu kutuuma amannya g’enguudo mu Kamapala Capital City.Ekibuga Kampala ndabirwamu ya Uganda mu nzikiriza, ebyobufuzi, obuwangwa, ebyafaayo, ebyenfuna, ebyenjigiriza wamu n’ebintu ebirala bingi ebyogera mu bufunze ku ggwanga Uganda (Gore & Muwanga, 2013, Matagi, 2001). Kampala asangibwa mu masekkati ga Uganda era nga kye kibuga kya Yuganda ekikulu (Constitution of the Republic of Uganda,1995). Kampala n’ebitundu ebigyetooloodde okuli Wakiso, Mukono ne Mpigi erina abantu abasoba mu bukadde obusatu (Janusz &banne, 2019), aboogera ennimi ezitali zimu nga Oluganda, Olungereza, Oluswayiri n’endala (Gore & Muwanga, 2013), ekyoleka obulungi Uganda nga emu ku nsi za Afirika ezoogera ennimi ennyingi era nga okunoonyereza kulaga nti Uganda erina ennimi enzaaliranwa 41 (Namyalo & Nakayiza, 2015). Kampala akolebwa obusozi musanvu okuli Makerere, Kololo, Namirembe, Old Kampala, Mengo, ne Nakasero. Era ekibuga kino kyawulwamu amagombolola ataano okuli Lubaga, Central, Kawempe, Makindye ne Nakawa nga gonna gali wansi w’obukulembeze bwa Kampala Capital City Authority (KCCA). Ekibuga Kampala kyeyolekeramu enkozesa y’olulimi mu lwatu (Linguistic Landscape, LL) ku bintu ng’amannya agatuumibwa amaduuka, ebipande, enguudo wamu n’ebirala bingi (Sianipar, 2001). Ku bintu ebyo waggulu, ennimi ez’enjawulo nga Olungereza, Oluganda, Oluswayiri, Orunyankore ze zimu ku zeeyolekerako (Ssentanda & Ncube, 2023). Okunoonyereza kulaga nti olulimi Olungereza lwe lulimi olusinga okweyolekera ku bintu ng’obupande bw’amaduuka (Ssentanda & Ncube, 2023). Okunoonyereza kuno kwagendereramu okuzuula ensonga ezeetooloolerwako entuuma y’amannya g’enguudo mu kibuga Kampala. Amannya g’enguudo kamu ku bubonero bwe nneeyoleka y’olulimi mu lwatu (LL) era nga gakola omulimu gwamaanyi mu kulagirira, okuwa obubaka wamu n’okuluŋŋamya abakozesa b’enguudo (Jolayemi & Olayemi, 2017). Ekimu ku bintu ebikulu ebitabuusibwa maaso mu kuteekerateekera ekibuga kwe kufaayo ennyo ku byentambula nga tuteekateeka enguudo ennungi ezo eziwundiddwa obulungi okusobozesa abantu okutambula obulungi awatali mugotteko ate n’okulaba nga zisobozesa abantu okulaba nga bazimanyirakondagiriro y’ebintudu gye baagala okulaga (Gharaee, 2021).Noolwekyo, okunoonyererza kuno kugendereddemu okuzuula ebintu ebyenjawulo ebitunuulirwa mu kutuuma enguudo ez’enjawulo amannya mu Kampala. en_US
dc.identifier.citation Namubiru, C. (2024) Entuuma y'amannya g'enguudo mu Kampala Capital City (Unpublished bachelor's dissertation) Makerere University, Kampala, Uganda. en_US
dc.identifier.uri http://hdl.handle.net/20.500.12281/20317
dc.language.iso other en_US
dc.publisher Makerere University en_US
dc.subject Naming of roads en_US
dc.subject Kampala Capital City en_US
dc.title Entuuma y'amannya ge nguudo mu Kampala Capital City en_US
dc.type Thesis en_US
Files