Epipikirizo epitupikiriza okusalawo bye tusomesa ku daala lya secondary
View/ Open
Date
2021-04-14Author
Nakiboneka, Joyce
Namaganda, Catherine
Nakibuuka, Shamira
Namale, Immaculate
Metadata
Show full item recordAbstract
Okunoonyereza kuno kwagenderera okulaba ebipikirizo ebyo ebitupika oba okutusikiriza okulonda ebyo bye tusomesa mu Luganda lwa sekendule mu Kasubi ekisangibwa mu Lubaga mu disitulikiti y'e Kampala.Mu nnyanjula eno twalaba egimu ku mitendera olulimi oluganda mwe lwayita okutuuka okusomesebwa Oluganda lwe lulimi olunnansi olw’abantu abamanyiddwa nga Abaganda n'abo abatali naye nga bazaaliranwa baalwo. Lwe lumu ku nnimi enkulu ezoogerebwa mu Uganda era nga okunoonyereza okwakolebwa mu mwaka gwa 2002 kwalaga nti olulimi luno lwali lwogerebwa abantu nga obukadde butaano (kyateeberezebwa nti abantu nga obukadde buna be baali balwogera nga olulimi lwabwe olusooka) nga okusingira ddala lwogerwa mu masekkati ga Uganda nga mw’otwalidde ekibuga ekikulu Kampala. Okusinziira ku UNESCO (2018) yagamba nti olulimi Oluganda lwe lulimi lw'osanga naaboogezi waakiri buli katundu akali mu gwanga Uganda. Oluganda lukwata kifo kyakubiri mu nnimi ezisinga okwogerwa mu Uganda. Mu ngeri eno, luddirira Olungereza ate ne luddirirwa Oluswayiri. Olulimi luno lugwa mu kiti ky’ennimi za Bantu era nga lulina akalandira ku luse olw’omu bitundu bya Niger-Congo.