Linguistic landscape in churches
View/ Open
Date
2021-10-22Author
Najjuko, Hadijah
Kiviiri, Ayubu Kanyike
Muwonge Ashiraf
Metadata
Show full item recordAbstract
Okunoonyereza kuno kwagenderera okwekaliriza ennimi ezikozesebwa ku bipande by’amasinzizo nga twekaliriza ennimi eziriko, enziringana yaazo, amakulu agali mubupande obwo mu bitundu by’e Lubaga mu Kampala Okunoonyereza kuno kwolese nti ennimi ezisinga okulabikira ku bipande by’amasinzizzo ziri nnya,Olungereza,Oluganda,Oluswayiri awamu n’oluwalabu. wano wetwalabira nga olungereza lwe lusinga okulabikira ku bupande obw’enjawulo okusinga ennimi ennansi kubanga luno lulabikira kumpi ku buli kapande nebwekaba nga kaliko olulimi olunansi ng’oluganda. kino no kitegeeza nti amasinzizzo agasinga gakozesa nnimi ngwira nga oluswayiri, oluwalabu awamu n’Oluzungu okusinga ennimi ennansi. Okusinziira ku kunoonyereza kwaffe kuno ffe tuteesa nti newankubadde ennimi engwira ze zi singa okukozesebwa mu mpya zino, kyandibadde kirungi abakulu baago okusoosa ennimi ennansi buli muntu n’asobola okufuna obubaka amangu okusinga okukozesa ennimi abantu ze bateekakasa bulungi mu kwogera ne mu kuwandiika