Enzimba ya ffuleezi nnalinnya mu lulimi Oluganda

Date
2021-12
Authors
Iga, Ismayira
Nantume, Christine
Nalutaaya, Margret
Nanyonjo, Bena Kizza
Journal Title
Journal ISSN
Volume Title
Publisher
Makerere University
Abstract
Alipoota eno etuumiddwa omutwe ogugamba ENZIMBA YA FFULEEZI NNALINNYA MU LULIMI OLUGANDA. Era nga eweza obungi bwa mpapula ana mu taano(45) era nga eri mu Lulimi lumu lwokka Luganda okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero yaayo. Alipoota eno era yeetabwamu abanoonyereza bana nga bwe balambikiddwa waggulu ku ntandikwa era nga bonna bayizi ku Ssetendekero Makerere. Nga alipoota eno enoonyezebwako era n'okuwandiikibwa bino bye byali ebiruubirirwa. Okuzuula engeri Ffuleezi Nnalinnya jekozesebwamu mu nnimi ez'enjawulo nengeri jekyukakyukamu mu bigo eby'enjawulo naddala mu Lulimi Oluganda. Ate era n'okulaba nga abantu abalala abaliba betaaze okunoonyereza ku muli nga guno bafuna okwanguyizibwa nga beyambisa okunoonyereza kuno okukoleddwa. Nga alipoota eno ewandiikibwa enkola zino wammanga ze zeyambisibwa ennyo okuli enkola ey'okubuuza ebibuuzo eri aboozi bennimi ez'enjawulo naddala Oluganda, enkola ey'okwetegereza abantu nga bazimba emboozi wamu n'okunyumya ne bannaabwe nga bwetuwandiika buli kye boogera.
Description
Keywords
Lulimi oluganda, Ffuleenzi
Citation