Okwekaliriza Olulimi olukozesebwa ku bipande by’amasinzizo mu Kampala.

Date
2026
Authors
Ntanga, Timothy
Nakasi, Catherine
Lukwago, Joshua Muwanguzi
Journal Title
Journal ISSN
Volume Title
Publisher
Makerere University
Abstract
Okunoonyereza kuno kwekaliriza embeera y’ennimi ku bipande by’amasinzizo mu kibuga Kampala nga kwekenneenya olulimi olukozesebwa ku bipande ebyo mu bitundu by’e Kawempe ne Rubaga. Twakozesa enkola ttabyawamu egattika kinnabunnyonnyozi ne kinnamiwendo okuzuula ebyokuddamu ku bibuuzo by’okunoonyereza era ebiwe twabikuƞƞaanya okuyita mu kukuba ebifaananyi by’ebipande by’amasinzizo, yintaviyu awamu n’okwekaliriza. Ebyazuulibwa byalaga nti olulimi Olungereza lwe lwali lubuutikira ennimi endala nga lwatwala ebitundu kyenda mu bisatu ku buli kikumi (93%) ku bipande byonna bye twakuba mu ebifaananyi. Luno, lwaddirirwa olulimi Oluganda olwatwala ebitundu bina ku buli kikumi (4%) mpozzi n’Oluwalabu olwatwala ebitundu bisatu ku buli kikumi (3%). Ebipande nnannimibbirye naddala ebyaliko Olungereza n’Oluganda byalabikira nnyo mu bitundu by’e Kawempe era byatwala ebitundu amakumi ana ku buli kikumi (40%). Okunoonyereza kuno kwakomekkerezebwa kukkirizza nti ennimi ezisalibwawo okukozesebwa ku bipande kiba eri abakulu n’abagoberezi b’enzikiriza ez’enjawulo era nga ekitongole kya KCCA kisaanidde okussa ebipande bino mu nteekateeka zaakyo nga kiruƞƞamya ebisingako obulungi, naddala mu kukulaakulanya ekibuga Kampala.
Description
Alipoota y’okunoonyereza okwakolebwa ng’ekimu ku byetaago by’okumaliriza diguli mu busomesa (Bachelor of Arts with Education) ku Makerere University
Keywords
Citation
Ntanga, T. , Nakasi, C., Lukwago, J.M. (2026). Okwekaliriza Olulimi olukozesebwa ku bipande by’amasinzizo mu Kampala. (Unpublished undergarduate research report) Makerere University, Kampala.