Okwekaliriza Olulimi olukozesebwa ku bipande by’amasinzizo mu Kampala.

dc.contributor.author Ntanga, Timothy
dc.contributor.author Nakasi, Catherine
dc.contributor.author Lukwago, Joshua Muwanguzi
dc.date.accessioned 2026-11-09T07:34:02Z
dc.date.available 2026-11-09T07:34:02Z
dc.date.issued 2026
dc.description Alipoota y’okunoonyereza okwakolebwa ng’ekimu ku byetaago by’okumaliriza diguli mu busomesa (Bachelor of Arts with Education) ku Makerere University
dc.description.abstract Okunoonyereza kuno kwekaliriza embeera y’ennimi ku bipande by’amasinzizo mu kibuga Kampala nga kwekenneenya olulimi olukozesebwa ku bipande ebyo mu bitundu by’e Kawempe ne Rubaga. Twakozesa enkola ttabyawamu egattika kinnabunnyonnyozi ne kinnamiwendo okuzuula ebyokuddamu ku bibuuzo by’okunoonyereza era ebiwe twabikuƞƞaanya okuyita mu kukuba ebifaananyi by’ebipande by’amasinzizo, yintaviyu awamu n’okwekaliriza. Ebyazuulibwa byalaga nti olulimi Olungereza lwe lwali lubuutikira ennimi endala nga lwatwala ebitundu kyenda mu bisatu ku buli kikumi (93%) ku bipande byonna bye twakuba mu ebifaananyi. Luno, lwaddirirwa olulimi Oluganda olwatwala ebitundu bina ku buli kikumi (4%) mpozzi n’Oluwalabu olwatwala ebitundu bisatu ku buli kikumi (3%). Ebipande nnannimibbirye naddala ebyaliko Olungereza n’Oluganda byalabikira nnyo mu bitundu by’e Kawempe era byatwala ebitundu amakumi ana ku buli kikumi (40%). Okunoonyereza kuno kwakomekkerezebwa kukkirizza nti ennimi ezisalibwawo okukozesebwa ku bipande kiba eri abakulu n’abagoberezi b’enzikiriza ez’enjawulo era nga ekitongole kya KCCA kisaanidde okussa ebipande bino mu nteekateeka zaakyo nga kiruƞƞamya ebisingako obulungi, naddala mu kukulaakulanya ekibuga Kampala.
dc.description.sponsorship Government Sponsored
dc.identifier.citation Ntanga, T. , Nakasi, C., Lukwago, J.M. (2026). Okwekaliriza Olulimi olukozesebwa ku bipande by’amasinzizo mu Kampala. (Unpublished undergarduate research report) Makerere University, Kampala.
dc.identifier.uri https://dissertations.mak.ac.ug/handle/20.500.12281/22688
dc.language.iso other
dc.publisher Makerere University
dc.title Okwekaliriza Olulimi olukozesebwa ku bipande by’amasinzizo mu Kampala.
dc.type Other
Files
Original bundle
Now showing 1 - 2 of 2
No Thumbnail Available
Name:
Ntanga-Bachelors-CEES-2026.pdf
Size:
6.5 MB
Format:
Adobe Portable Document Format
Description:
No Thumbnail Available
Name:
Ntanga- Consent.pdf
Size:
209.11 KB
Format:
Adobe Portable Document Format
Description:
License bundle
Now showing 1 - 1 of 1
No Thumbnail Available
Name:
license.txt
Size:
462 B
Format:
Item-specific license agreed upon to submission
Description: