• Login
    View Item 
    •   Mak UD Home
    • College of Education and External Studies (CEES)
    • School of Education (SEd.)
    • School of Education (SEd.) Collection
    • View Item
    •   Mak UD Home
    • College of Education and External Studies (CEES)
    • School of Education (SEd.)
    • School of Education (SEd.) Collection
    • View Item
    JavaScript is disabled for your browser. Some features of this site may not work without it.

    Emisomo gy,abasomesa b'olulimi oluganda n'obuvunanyizibwa bwabwe mu Kusomesa oluganda.

    Thumbnail
    View/Open
    Undergraduate dissertation (409.6Kb)
    Date
    2022-04-27
    Author
    Kavuma, Gonzaga
    Sserwadda, Habib
    Katisi, Juliet.
    Metadata
    Show full item record
    Abstract
    Emisomo zibeera nkungaana ezitegekebwa abakugu okuva mu bisaawe eby'enjawulo mwe basisinkanira okuteeseganya ku bintu eby'enjawulo. Emisomo gisobola okwawulwamu ebika okusinziira ku ani ategese, omulamwa okutegekerwa emisomo, ebbanga lye gimala nga giyinda, mpozi n'obungi oba omuwendo gw'abantu abagijjumbira nga bwe birambuluddwa wamanga. Okugeza waliwo "seminar" nga guno guba musomo omukugu oba abakugu mu kisaawe ekimu mwe booleseza n'okuwa obukugu abo abalala mu kisaawe kyekimu. Kyokka ate waliwo ne "conference" nga luno luba lukungaana olunene nga lutegekebwa n'ekigendererwa ekikulu eky'okwebuuza n'okuwanyisiganya ebirowoozo wakati w'abakugu n'abatali nga guno gutwala ebbanga eriri wakati wa w'olunaku n'enaku esatu sinakindi e wiiki. Ate nga "symposium" gwo guba musomo omusisinkanira abakugu n'abakugu okubaako omulamwa gwe bateeseganyako. So ng'ate ebika ebyo ebimenyeddwa waggulu era bisobola okwawulwamu ebika ebirala okusinziira ku ani oba kisaawe ki ekiwomye omutwe mu kutegeka omusomo okugezao giyinza okuba egy'eddiini (Religious conferences) nga gino gitegekebwa abakugu mu by'eddiini okukubaganya ebirowoozo ku miramwa egyenjawulo mu kisaawe eky'eddiini. Emisomo era gisobola okuba egy'abalimi (farmers conference/workshop), abakugu mu bulimi n'abalimisa mwebasisinkanira okusoma,okuyiga, n'okuwanyisiganya ebirowoozo ku miramwa egikwata ku by'obulimi. Okugeza ogwa " harvest money" ogutegekebwa vision group e Namboole buli mwaka. Emisomo nate era gisobola okuba egy'ekiyivu (academic conferences) abakugu mu bisaawe by'ekiyivu ebitali bimu mwe basisinkanira okukubaganya ebirowoozo, okusoma, n'okuyiga ebintu eby'enjawulo ku miramwa gy'ekiyivu egy'enjawulo ng'era mukowe lino ery'emisomo mu kisaawe ky'ekiyivu n'emisomo gy'abasomesa mwegigwa n'emisomo era nga tulina n'emisomo egy'ebika emirala mingi. Okusinziira ku National Curriculum Development Center Act 1973, nga lino ly'etteeka eryatondawo ekya (NCDC) ekirina obuvanaanyizibwa obukulu obw'okubaga n'okutegeka ebyeyambisibwa mu kusoma n'okusomesa. Kyokka ng'ogyeko okubaga ebyeyambisibwa mu kusoma n'okusomesa NCDC era essuubira okutegekanga emisomo nga emu ku ngeri ey'okukwasi abasomesa oba abo abateekesa ebibagiddwa okusomesebwa mu nkola, enkyukakyuka n'ebintu ebipya ebiba bibaluseewo. Era etteeka lye limu liwa ekitongole obuyinza okutegekanga emisomo singa waba wakuleetebwawo enkyukakyuka ezeekusa ku by'okusoma mu Uganda. Olulimi Oluganda ng'amasomo amalala gonna agasengekebwa mu bbago ly'ebisomesebwa mu ggwanga ( syllabus), okugeza olungereza, essomo ly'ebyafaayo, ery'okubala n'amalala, bulijjo gategekebwamu emisomo eri abayizi baago era ng'egitegekerwa abayizi gigwa mu kiti ekya "seminars" so nga waliwo n'egitegekerwa abasomesa egigwa mu kiti ekya "conferences" ku miramwa n'ebigenderera ebitali bimu. Nabwekityo okunoonyereza kuno kugenda kwesigamizibwa ku misomo egy'ekiyivu " academic conferences" nga mu kiti ky'emisomo kino mwe tugenda okusinziira okunoonyereza ku Misomo gy'abasomesa b'olulumi.
    URI
    http://hdl.handle.net/20.500.12281/12021
    Collections
    • School of Education (SEd.) Collection

    DSpace 5.8 copyright © Makerere University 
    Contact Us | Send Feedback
    Theme by 
    Atmire NV
     

     

    Browse

    All of Mak UDCommunities & CollectionsTitlesAuthorsBy AdvisorBy Issue DateSubjectsBy TypeThis CollectionTitlesAuthorsBy AdvisorBy Issue DateSubjectsBy Type

    My Account

    LoginRegister

    Statistics

    Most Popular ItemsStatistics by CountryMost Popular Authors

    DSpace 5.8 copyright © Makerere University 
    Contact Us | Send Feedback
    Theme by 
    Atmire NV