dc.description.abstract | Okunoonyereza kuno kukwata ku kwekaliriza mpandiika y’olulimi Oluganda ku bipande by’obusuubuzi . kwakolebwa mu bitundu bye bwayise mu disitulikiti ye wakiso. Alipoota eno eteereddwamu essuula ttaano era nga essuula essooka erimu ennyanjula, ebyafaayo by’olulimi Oluganda, empandiika y’olulimi Oluganda enkozesa y’olulimi Oluganda ebikwata ku by’obusuubuzi mu Uganda engeri abasuubuzi gyebalangamu emirimu gyabwe,ekizibu, obugazi bwekizibu, ebigendererwa,omugaso gw’okunoonyereza. Essuula eyookubiri erimu ennyanjula, empandiika y’Oluganda entongole amateeka g’empandiika y’Oluganda , amateeka agakwata ku nkozesa y’obubonero bw’empandiika,ebikwata ku nzirugaze mu Luganda, lwaki abantu
bakozesa ebipande. Essuula eyookusatu erimu ennyanjula, ekyanoonyerezebwako, engeri okunoonyereza gyekunatambula, ebifo awakolebwa okunoonyereza kuno n’obukodyo obwakozesebwa, okusoomooza kwetwasanga mu kunoonyereza, enzivuunuuka y’ebisoomozo, okuyungulula ebizuulo. Essuula eyookuna erimu ennyanjula , ebizuulo ebyekuusa n’enkozesa
y’empeerezi, enjawula y’ebigambo, enkozesa y’obubonero, ebyekuusa ku nsirifu, amateeka agasinga okumenyebwa ku bipande by’obusuubuzi, ebiyinza okukolebwa okuvvuunuka ekizibu ne nkubira. Essuula eyookutano erimu ennyanjula, amakulu agakongojjebwa ebipanden’ebisikiriza abantu okuwandiika ebipande . | en_US |