Show simple item record

dc.contributor.authorNassonzi, Dorah
dc.contributor.authorWasswa, Joseph Male
dc.contributor.authorNantanda, Zaina
dc.date.accessioned2022-11-25T09:50:45Z
dc.date.available2022-11-25T09:50:45Z
dc.date.issued2021-03-21
dc.identifier.citationNassonzi, D, Wasswa J.M., Nantanda Z. (2021). Endowooza abantu ze balina ku lulimi Oluganda ng'essomo erisomesebwa mu masomero ga ssekendule n'amatendekero agaawaggulu mu mbeerabantu zaabwe.Unpublished undergraduate dissertation. Makerere University; Kampala-Uganda.en_US
dc.identifier.urihttp://hdl.handle.net/20.500.12281/13647
dc.descriptionA dissertation submitted to the department of African languages in partial fulfillment of the award of the degree of Bachelor of Arts with Education of Makerere University.en_US
dc.description.abstract1.1 Ennyanjula y'ekinoonyerezebwako Okunoonyereza kuno kugenda kutunuulira endowooza abantu ba bulijjo ze balina ku lulimi Oluganda nga essomo erisomesebwa abayizi mu masomero ga ssekendule n'amatendekero agaawaggulu mu mbeerabantu. Mu masomero ga ssekendule awamu ne ssettendekero wa Makerere n'amasomero gonna agasangibwa mu ggombolola y'e Lubaga mu diisitulikiti y'e Kampala. Mu nnyanjula eno tugenda kulaba egimu ku mitendera olulimi Oluganda mwe lwayita okutuuka okusomesebwa mu ssekendule ate ne mu matendekero agaawaggulu. Embeerabantu bye bitundu abantu gyebabeera era kizingiramu n'embeera zaabwe entonderemu saako n'ezo enkoppe. Oluganda lwe lulimi olunnansi olw‟abantu abamanyiddwa nga Abaganda n'abo abatali naye nga bazaaliranwa baalwo. Lwe lumu ku nnimi enkulu ezoogerebwa mu Uganda era nga okunoonyereza okwakolebwa mu mwaka gwa 2002 kwalaga nti olulimi luno lwali lwogerebwa abantu nga obukadde butaano (kyateeberezebwa nti abantu nga obukadde buna be baali balwogera nga olulimi lwabwe olusooka) nga okusingira ddala lwogerwa mu masekkati ga Uganda. Waliwo ne “Western Bantu languages” omuli Lango, Acholi, Alur, Dhopadhola ne Kumam. Ate mu “Sudanic languages” mulimu Lugbara ne Madi. Okusinziira ku ssekamwa (1997) yagamba nti mu kutumbula ennimi baasooka nakukyusa bbayibuli mu nnimi za Uganda ez'enjawulo naye olwokuba eddiini yasookera wano mu Buganda, baasalawo basooke n'okugiteeka mu Luganda olulimi abantu baamwo lwe baali boogera era mu 1896 ne 1897 bbayibuli yaggwa bulungi era n'etandika okukozesebwa. Agamba nti newankubadde Oluswayiri wano lwaliwo okusookera ddala n'Olungereza era nga lumanyifu nnyo n'okusinga Oluganda, naye ng'obufuzi bwa matwale bumaze okukakasibwa wano amaanyi baasinga kugateeka mu Luganda kubanga bo baali baagala balufuule olulimi olwokubiri olw’amatwale, “The lingua franca”. Kino kyawaliriza ababuulizi b‟enjiri okukyusa okuva ku Luswayiri okudda ku Luganda kubanga lwali lulimi lwa Baganda abaalina enkizo ku mawanga amalala (influencial tribe) ate n’Abaganda abaali bateereddwa ku kakiiko akafuzi okufugirako Abangereza. Mu kaweefube w’okubunyisa obulungi eddiini, baasalawo okutandika okusomesa abaana abato nga bayita mu kubakungaanyiza mu bigo olwo mu 1901 okusomesa abaana mu ppulayimale kwatandikira mu bigo. Mu 1924 gavumenti enkuumi yeddiza obuyinza bw’ebyenjigiriza mu Uganda ng’ebujja ku Baminsani era n’ekyusa ebintu bingi. Wano Oluganda lwaserebamu kubanga kyabawaliriza okuddamu okwekenneenya buli Baminsani kye baali bakoze era Phelps-Stoke Commission yatuuka n’esalawo obutakozesa Luswayiri naye kino tekyasanyusa Bangereza era mu 1928 e Mombasa baasalawo okukozesa Oluswayiri ng’olulimi lw’okubiri olwa bafuzi b’amatwale. Naye nga kino tekinnabaawo agamba nti ennimi ennansi mu mwaka gwa 1924 z’akolerwa enteekateeka okulaba nga zonna zisomesebwa kubanga Abaminsani baali bamaze okutambula ekimala mu ggwanga lyonna naye lwo Oluganda lwalina enkizo kubanga lwo lwali lulimi olukozesebwa n’golutongole mu Uganda nga mw’otwalidde ekibuga ekikulu Kampala. Okusinziira ku UNESCO (2018) yagamba nti olulimi Oluganda lwe lulimi lw'osanga naaboogezi waakiri buli katundu akali mu gwanga Uganda. Oluganda lukwata kifo kyakubiri mu nnimi ezisinga okwogerwa mu Uganda. Mu ngeri eno, luddirira Olungereza ate ne luddirirwa Oluswayiri. Olulimi luno lugwa mu kiti ky’ennimi za Bantu era nga lulina akalandira ku luse olw’omu bitundu bya Niger-Congo. Okusinziira ku Fishman (1991) okusobola okukuuma olulimi okuva ku mazadde agamu okutuuka ku mazadde amalala bannyini lwo balina okulukuba mu byapa ng'emu ku nkola gye basobola okukuumamu olulimi olwo. Omulanga guno gwawulirwa munnanimi Walusimbi eyatandika okubangula abavubuka abayivu mu lulimi Oluganda olwo mu 1976 ne batandika okulusomesa ku University e Makerere. Olw'okuba nga university yali erukoledde enteekateeka, lwatandiika okusomesebwa mu masomero ga haaya ne loowa. Nate kino kyali kizibu nnyo okutuukikako singa lwali telulina mpandiika ntongole kwe lwalina okutambulira.en_US
dc.language.isootheren_US
dc.publisherMakerere University.en_US
dc.subjectLanguage Attitudeen_US
dc.subjectLuganda Languageen_US
dc.titleEndowooza abantu ze balina ku lulimi Oluganda ng'essomo erisomesebwa mu masomero ga ssekendule n'amatendekero agaawaggulu mu mbeerabantu zaabwe.en_US
dc.typeThesisen_US


Files in this item

Thumbnail

This item appears in the following Collection(s)

Show simple item record