Okwekennenya enneeyisa y'abayizi mu byomukwano ku ssetendekero Makerere
View/ Open
Date
2023-12Author
Kityo, Andrew
Auma, Teddy
Nandawula, Mary Teddy
Nakajjubi, Shadiah Mariam
Metadata
Show full item recordAbstract
Amawanga mangi mu nsi yonna galina engeri gye gatwalamu ensonga y’omukwano ng’ensi
nnyingi buli emu erina emyaka egy’essira omuntu we bamusuubirira okutandikirako
okwenyigira mu nsonga z’omukwano okusinziira ku nnono, obulombolombo, amateeka
n’empisa z’amaka ez’enjawulo. Mu nsi z’ebweru tewali myaka gy’assarira muntu walina
kutandika kwetaba mu nsonga z’omukwano, naye okutwaliza awamu kisuubirwa nti waliwo
emyaka egisuubirwa omuntu walina okutandika okwetaba mu nsonga z’omukwano okutandikira
ku myaka kkumi na mukaaga okutuuka ku myaka kkumi na munaana egy’obukulu. Ate ne ku
lukalu lwa ssemazinga Afirika nayo amawanga gaayo tegalina myaka gy’assarira nga bwe kiri
mu Bulaaya. Naye bw’otunuulira Yuganda, emyaka omuntu gy’atandikirako omukwano giyinza
okwawukana nnyo okusinziira ku muntu kinnoomu by’ayagala, obuwangwa bwe, n’empisa
z’amaka. Mu Yuganda, empisa z’okuganza ziyinza okukwatibwako enkola z’ennono
n’enzikiriza z’ekitundu. Wadde ng’abantu abamu bayinza okutandika okuganza nga bali mu
myaka gyabwe egy’obutiini oba egy’amakumi abiri, abalala bayinza okusalawo okutandika
okuganza oluvannyuma. Kikulu nnyo okulowooza ku bwetegefu bw’omuntu, okukkiriza,
n’empisa z’obuwangwa ng’osemberera okuganza mu nsi yonna. Ng’okusinziira ku Stephen
B.Levine (2005), agamba nti omukwano maanyi ga butonde agalimu okwewaayo, agalimu
ebiruubirirwa eby'omukwano ate era omukwano si mpulira ya muntu omu nti empulira eno
ebeera mu bantu babiri, teri nga nnaku, teri nga nnugu, teri nga kikulumiriza, teri nga embeera
zonna ezitera okubeera mu mpulira ey'omuntu omu.