Okusaka ebigambo mu lulimi Oluganda okuva mu nnimi endala.
View/ Open
Date
2020-12Author
Mubeezi, Moureen
Mayinja, Jackson
Nantanda, Aidah
Nabunnya, Damalie
Metadata
Show full item recordAbstract
Okusaka ebigambo mu luganda kyava dda nga ennimi zeewolagana okusinzira ku ninaanagana olwembeera ez'enjawulo. Era nga olulimi oluganda lusase mu nnimi ez'enjawulo okuli engwira wamu n'ennaansi, okugeza olungereza, olusoga, n'endala. Okusaka kumanyiddwa okuddira ekintu ekiyinza okuba erinnya oba ekikolwa okuva mu lulimi olulala okudda mu lulimi olulala.
Okunoonyereza kuno kwasinga kwekkaliriza engeri ebigambo ebisake gy'ebizimbibwamu mu luganda nga tutunuulira ensibuko wamu n'ensonga kwali Lusaka ebigambo. Era kwagenderera okuzuula ebigambo ebisake mu luganda wamu n'engeri gy'elusakamu ebigambo ebyo.
Okutukiriza ekyo twatunuulira ebiwandiiko eby'enjawulo eby'ekuusa ku kusaka ebigambo era twatuunuulira engeri ez'enjawulo era nga twatandiikira ddala okuva mu biseera by'abaminsani okutuusa ekiseera kino wamu n'emigaso lwaki olulimi oluganda Lusaka ebigambo.
Okunoonyereza kwaffe kwesigamizibwa ku kunnyonnyola kw'ebigambo nga kutereddwako obujulizi. Mu kunoonyereza kwaffe twazuula nti olulimi oluganda lusase ebigambo mu nnimi ez'enjawulo omuli ennansi wamu n'engwira, okugeza nga olusoga, oluswayiri n'endala. Okusaka ebigambo okuva mu nnimi endala okudda mu luganda twakizuula nga kyamugaso nnyo eri olulimi ne bannalulimi, okugeza, nti okusaka kuyaambye nnyo okugonjoola ebisoomooza aboogezi b'olulimi bye basanga