• Login
    View Item 
    •   Mak UD Home
    • College of Education and External Studies (CEES)
    • School of Education (SEd.)
    • School of Education (SEd.) Collection
    • View Item
    •   Mak UD Home
    • College of Education and External Studies (CEES)
    • School of Education (SEd.)
    • School of Education (SEd.) Collection
    • View Item
    JavaScript is disabled for your browser. Some features of this site may not work without it.

    Entegeera y'ekimiimo 'literacy mu boogezi b'ollimi .oluganda.

    Thumbnail
    View/Open
    Master's thesis (1.141Mb)
    Date
    2022-01-24
    Author
    Nanyuti, Christine
    Nabasirye Mary Angella
    Ssentongo Moses
    Metadata
    Show full item record
    Abstract
    Okunoonyereza okuno kwali ku ntegeera y’ekimiimo “Literacy” mu Boogezi B’olulimi Oluganda mu kitundu ky’eNansana. Twakizuula nti mu kitundu ky’e Nansana mwalimu abayivu abawerako era nga oluusi be twabuuza beeyongerangako nga abayivu nga ddala beejuulizaako bo bennyini. Twakizuula nti n’abatali bayivu baalimu mu kitundu ky’e Nansana era nga ne kino twakiggya mu kuddamu kw’abazibuzi be twafuna. Buli gwe twabuuza teyabuusabuusa nti ddala abo abatali bayivu mu kitundu baalimu. Abandi baagenda mu maaso n’okubajulizaako nga baddamu ebibuuzo ebirala newankubadde tebaabaatuukiriza mannya. Twakizuula okuva mu bazibuzi nti omuyivu ye muntu asomyeko okutuuka mu kibiina eky’omusanvu oba ssiniya ey’omukaaga. Baayongera ne batutegeeza nti omuyivu ye muntu alina obusobozi okubaako ekintu ky’akola nga akimanyi era omuyivu abeera mumanyi. Abandi baayongerako nti alina okubeera nga yakugukira mu bbanguliro lyonna essomero oba okuyigira ku mulimu (apprenticeship) era nga alina n’ebiwandiiko ebikakasa nti ayize. Omuyivu ayawula ekituufu ku kikyamu, yeebuza ku bamusingako era n’ayambako ku balala okubasitula okubaggya wansi era yeegendereza mu by’akola. Okusinziira ku bazibuzi baffe omuyivu akolera ebintu bye mu budde obutuufu, akolagana n’abantu bonna nga tafuddeeyo ku nsibuko yaabwe. Omuyivu yeeyisa bulungi era akolanga eky’okulabirako eri abalala. Omuyivu ayambala mu ngeri emuweesa ekitiibwa, tamala googera, akkiriza okuwabulwa, anoonyereza nga tannakola kusalawo, n’ebirala bingi. Abazibuzi baalina endowooza ez’enjawulo ku biyinza okusinziirwako okuyita omuntu atali muyivu. Baatugamba nti abantu abatali bayivu tebabeera na buvunaayizibwa, bamala googera ebigambo n’ebyo ebiwemula, beemulugunya mulugunya, baleekaana, bambala bubi, n’ebirala.
    URI
    http://hdl.handle.net/20.500.12281/12422
    Collections
    • School of Education (SEd.) Collection

    DSpace 5.8 copyright © Makerere University 
    Contact Us | Send Feedback
    Theme by 
    Atmire NV
     

     

    Browse

    All of Mak UDCommunities & CollectionsTitlesAuthorsBy AdvisorBy Issue DateSubjectsBy TypeThis CollectionTitlesAuthorsBy AdvisorBy Issue DateSubjectsBy Type

    My Account

    LoginRegister

    Statistics

    Most Popular ItemsStatistics by CountryMost Popular Authors

    DSpace 5.8 copyright © Makerere University 
    Contact Us | Send Feedback
    Theme by 
    Atmire NV